Abatuuze kubyaro ,3 okuli Kamazzi A Kamazzi B ne Malongo , ebisangibwa mu Town kanso ye Katovu mu District ye Lwengo balajanidde gavument ebayambe olwomuggaga gwebayita Musiitwa abanji gwebayita muzeei, abafuukidde ekyambikka nga abagobaganya , n’obutabakkirirza kusena mazzi ku luzzi olwekitundu , lwagamba nti luli mu kibanja kye era ono namakubo agazibye ekireseewo Embeera enzibu mu kitundu.

Abatuze ngabakulembedwamu Ssentebe w’ekyaro Kamazzi A Narongo Mukinda Winifred, mulukiiko lwe kyaalo oluyitiddwa mobukubiririre bagamba nti omugagga Ono Musiitwa Isa yagula ettaka kukyaro Kamazzi A nga mwalimu oluzzi abatuze lwebakozesa wabula yagobamu abatuze obutaddamu kusena kuluzzi luno wamu nokuziba amakubbo agagenda kuluzzi luno ebyobyona bwebyatukawo ye n’abatuuze abalala kwekudukira mu office ya RDC we LWENGO okufuna obuyambi.
Kyokka omugagga ayogerwako Musiitwa Isa agambibwa okuziba amakubo agagenda kuluzzi bino byona abyeganye nagamba nti mukibanja kye temuli luzzi wabula asabye abatuuze obutamwononela birime era asinzidde mulukiiko luno nasaba ,RDC ensonga ziino baziramuze nobwenkanya

Wabula ye omumyuka w’omubaka wa president mu district ye Lwengo Lwatangabo Bonivencha bweyatuuse ku kifo kino, yagambye tewali muntu akirizibwa kugaana batuuze kukozesa luzzi kubanga ensonga ya mazzi gavument yajesigaliza era nalagira omugagga Musiitwa Isa aggule amakubo agatwala abantu kuluzzi era nalagira abatuuze okuddamu okulukozesa
Namulema Mery Judi okuva mukitongole kyobutonde bwensi ku District ye Lwengo alabudde abantu okwewala okulima mulutobaazi nga tebafunye lukusa okuva mu gavument.
Ends