Abaddukanya ettendekero ly’ebyemikono erya Masaka Vocational Trainning Institute basse omukago n’e Ssaza ly’eklezia Katolika ery’e Masaka, okukolaganira n’okuddukanya ettendekero lino n’ekigendererwa kyokwongera okutendeka n’okubangula abavubuka emirimu gyomumutwe mu kitundu kino eky’e Masaka.

Bino bibadde ku Tendekero lino erisangibwa e Bugabira mu Division ya Nyendo Mukungwe mu Kibuga Masaka ng’ensisinkano eno yatabiddwako omusumba w’eSsaza ly’e Masaka Bishop Serverus Jjumba, omusigire we Msgr Dr. Dominic Ssengooba, omukwanaganya w’emirimu gyobutume mu Ssaza lino Rev. Fr. James Ssendege Ssekitto, atwala ebyenjigiriza mu Ssaza Fr. Micheal Kamulegeya, saako ne Fr. Emmanuel Katabaazi atwala ebyobulamu mu ssaza nabalala saako omutandisi walyo Francis Kamulegeya, Principal, n’abasomesa.
Endagaano y’omukago guno eteereddwako omukono omusumba w’eSsaza ly’e Masaka Bishop Serverus Jjumba, ba Nnamateeka be Ssaza ly’eMasaka saako n’abatandisi b’etendekero lino okuli Francis Kamulegeya okwongera okunyweza obwa sseruganda bwebatuuseeko ate n’okweyama okukolerera awamu mukuddukanya ettendekero lino.
Mundagaano eno, E Ssaza ly’e Masaka litute omugabo gwa bitundu 25% ng’obwannanyini bweririna ku tendekero lino okuli n’ettaka kwelitudde eriwezaako yiika 7, olwo nnamyini lyo Francis Kamulegeya nasigaza ebitundu 75%.
Omusumba Serverus Jjumba asinzidde wano naawa abavubuka n’abazadde amagezi bavve mukulindanga emirimu gya Office wabula bettanire nnyo amatendekero gebyemikono basobole okwetandikirawo emirimu.

Omusumba ayongeddeko nti okufuna ettendekero nga lino mu Ssaza kikulu nnyo kuba , eggwanga lisaana okbaamu abantu nga basobola okwekolera ebintu byebeeyambisa mubulamu obwabulijjo, okusinga okubanga buli kamu basuubulwa busuulwa ebweru ,
Omusigire w’omusumba Msgr Dr. Dominic Ssengooba , nga naye abaddewo, yebaziza nnyo omutandisi w’etendekero lino Francis Kamulegeya okukolaganira wamu ne Ssaza okutumbula ebyenjigiriza nasuubiza nti baakukolaganira wamu naye .
Francis Kamulegeya omutandisi w’etendekero lino agamba ekirowoozo kyokulitandika yakifuna mubiseera bya Covid 19 oluvanyuma lw’omugalo ogwakosa abantu, yakizuula nti abantu abaali bakola emirimu gyomumutwe bbo tebaakosebwa nnyo muggalo guno, baasigala bakola emirimu gyabwe, kale kwekutandika etendekero lino okubangula abavubuka bafune obukuggu okukola ebintu ebitali bimu basobole okukyusa obulamu bwabwe.
Ono agamba olwobumanyirivu Eklezia Katolica bwerina mukuddukanya amasomero n’amatemndekero gaayo kyekimu kubyamuwaliriza okutta omukago naba Masaka Diocese.
Ye Fr. James Ssendege omukwanaganya w’emirimu gyobutume mu Ssaza ly’e Masaka omu kubakulembeddemu okulaba nga batuuka kukkula lino ery’okutta omukago ayogedde kubukulu bw’emikago munkulakulana yebitongole abantu kyebasaanidde okwetanira.
Mumbeera eno Fr. Micheal Kamulegeya atwala ebyenjigiriza mu Ssaza lye Masaka agambye etendekero lino kati lyegasse kwago gebalina era wakukola ekisobola nga kyetaagisa mwekiri.
Steven Kakeeto akulira ebyenjigiriza mu kibuga Masaka agambyeabaana naddala abaliko obulemu babadde basanga okusoomozebwa okufuna masomero nga gano mwebasomera nayebaza omutandisi w’ettendekero lino okubalowoozako.
REPORTED BY DDUNGU FRED
Ends