Olwaleero abasomesa ba masomo ga Arts abegatira mukibiina kyabwe ekya Uganda Professional Humanities Teachers Union mubendobendo lye masaka bakedde kwekalakaasa nga balaga obutali bumativu olw’omusaala gwebafuna gwebagamba nti gwamunyoto tegukyasobola kubayimirizaaawo.

Bano okusooka baabadde bategese kubeera ku kisaawe kya Sports arena ekitovu mukibuga Masaka naye Poliisi enteekateeka negirinyamu eggere, kyoka tekilobedde bano kugenda mumaaso nenteekateeka yabwe era bano bagikubye ekimooni nebekalakasiza mukisaawe kyomu Kasana Mu Nyendo.
Bano bagamba nti kyekiseera gavumenti okuvaayo ejjewo enkola y’okusosola abaana n’ebyana bonna betaaga okubeezaawo obulamu.

Amyuka ssentebe w’abasomesa ba Arts Mu greater Masaka Kafeero Yusufu agambye emitwalo 600,000 ne 800,000 ezibaweebwa tejibasobozesa kwebezaawo era bagala bongezebwe ensimbi nga wekyakolebwa kubasomesa ba Science.
Mungeri yeemu Kafeero Yusufu agambye bakandaliziddwa ekimala era kati tebagenda kudamu kulinya mubibiina kusomesa bayizi nga ensonga zaabwe tezikoleddwako.

Reported by Ddungu Fred