Omuyambi wa bwanamukulu mu parish ye Namabaale mu ssaza ly’eklezia katolika ery’emasaka Rev. Fr Bakulu Emmanuel yenyamidde nnyo olw’abavubuka ensangi zino abamalira amanyi gabwe nga bakola ebintu ebitalimu makulu nga okunywa ebidaggaladagala, omwenge ogususse nebirala ekiretedde abangi kubbo okuva ku mulamwa ogwokukola ebyo ebibatwala mumaaso.

Bino abyogedde bwabadde akulebeddemu ekitambiro kyemissa ku kiggo kya St Mathias Mbirizi mu district ey’elwengo nga abavubuka awamu nabakadde mu parish eno bakuzza olunaku lwabwe kwossa nolunaku lwa Penticotti, kwebasondedde ensimbi ezokuyimirizaawo ensawo yabavubuka mu parish eno.
Rev Fr. Bakulu Emmanuel yategezezza nti abavubaka bangi ensangi zino bavudde ku mulamwa olwokwetanira ebintu ebibamalira obudde nga nabamu bafuuse ekitagasa mubitundu byabwe gyebawangalira.
Ono era asabye abazadde okukola ekisoboka okugunjula abaana babwe nga babakuliza mu mpiisa awamu neddini beewale okubekanasa mubukulu nga babafuukidde ekyambika ,
Akuliira enkambi ya magye e kasijagirwa Maj. Gen. Deus Ssande eranga yabadde omungenyi omukulu ku mukolo guno nga ali wamu nebanamajje abalala okubadde Brig. Gen. Pande Jackson nga yakulira ebikwekweto mugye lye gwanga Uganda erya UPDF eryokuttaka nabo baliko entanda gyebasibiridde abavubuka okukozesa obulungi obuvubuka bwabwe okwewala ebyo ebiyinza okwonoona ebiseera byabwe ebyomumaaso.

Ate ye Sabakristu we Ssaza erye Masaka mukyala Regina Kitaka Nalubega awanjagidde Gavumenti yakuno okola enongosereza mu ssente zebawa abakadde abakuzze mu myaka nti ntonno nnyo ate nezirwayo mukuzifuna.

Ku mukulo kuno kubaddeko okusonda ensimbi ezokuyimirizawo ensawo yabavuka ku parish eno awamu nokulongosa olujja ly’eklezia okulusiba Pavers nga Ensimbi e zisoba mu bukadde 10 ezisondeddwa mu buliwo awamu nemubisubizo.



Reported by Kawooya Dennis