Bannamateeka abawoza emisango mu Kooti enkulu e Masaka batadde ebikola wansi, berayiridde obutadda mukooti kuwoza musango okutuusa nga gavument n’abakulu musigga eddamuzi babawadde abalamuzi abamala.
Banno babazze ekiwandiiko ekiteereddwako emikono gyabanamateeka bonna abakolerera e Masaka abawereraddala 26, nga bakulembeddwamu Alexander Lule akulira bannamateeka e Masaka, John Kawanga, Salifu Ssozi, Joseph Waswa, Eddy Ssansa, Sam Ssekyewa, Godfrey Baluku, Brenda Innomugisha, Harbert Zikusooka, Devis Kikyonkyo nabalala kyebatute mubakulu abavunanyizibwa okulaba nga bakola kunsonga yabwe.


Bano nga basinziira ku Kooti e Masaka mukwogerako nabamawulire, bagamba nti emisango mingi gyetuumye mukooti eno nga negimu giri mumyaka 10 n’okusoba tegikolwangako kuggwa olw’abalamuzi ba Kooti enkulu abatamala.
Alexander Lule akulira bannamateeka e Masaka agamba bamazze omwaka mulamba nga balina omulamuzi mukooti enkulu omu (1) yekka, nga ye Fatuma Nanziri olwaleero kwekusalawo nti okutandika n’olunnaku lwa Monday wiiki ejja tebagenda kudda mu Kooti okutuusa nga gavument ekkoze kunsonga yabwe.

Munnamateeka ono agamba nti bawandiikidde abakulu mu Ssiga eddamuzi enfunda eziwera naye nga mpaawo kikolebwa, nagamba kino tebagenda kukigumiikiriza.
Devis Kikyonkyo omu kubannamateeka abakolera e Masaka agamba bakooye okulyanga sente zabantu naye ng’emisango gyebalina okukolako gitudde butuuzi mukooti.
Reported by Ddungu Fred
ENDS