ABA MASAKA VOCATION BASSE OMUKAGO NE MASAKA DIOCESE

Abaddukanya ettendekero ly’ebyemikono erya Masaka Vocational Trainning Institute basse omukago n’e Ssaza ly’eklezia Katolika ery’e Masaka, okukolaganira n’okuddukanya ettendekero lino n’ekigendererwa kyokwongera okutendeka n’okubangula abavubuka emirimu gyomumutwe mu kitundu  kino eky’e Masaka. Bino bibadde ku Tendekero lino erisangibwa e Bugabira mu Division ya Nyendo Mukungwe mu Kibuga Masaka ng’ensisinkano eno yatabiddwako omusumba w’eSsaza ly’e Masaka Bishop Serverus Jjumba, omusigire we Msgr Dr. Dominic Ssengooba,  omukwanaganya w’emirimu gyobutume mu Ssaza lino Rev. Fr. James Ssendege Ssekitto, atwala ebyenjigiriza mu Ssaza Fr. Micheal Kamulegeya, saako ne Fr. Emmanuel Katabaazi atwala ebyobulamu mu ssaza nabalala saako omutandisi walyo Francis Kamulegeya, Principal, n’abasomesa.  Endagaano y’omukago guno eteereddwako omukono omusumba w’eSsaza ly’e Masaka Bishop Serverus Jjumba, ba Nnamateeka be Ssaza ly’eMasaka saako n’abatandisi b’etendekero lino okuli Francis Kamulegeya okwongera okunyweza obwa sseruganda bwebatuuseeko ate n’okweyama okukolerera awamu mukuddukanya ettendekero lino. Mundagaano eno, E Ssaza ly’e Masaka litute omugabo gwa bitundu 25% ng’obwannanyini bweririna ku tendekero lino okuli n’ettaka kwelitudde eriwezaako yiika 7, olwo nnamyini lyo Francis Kamulegeya nasigaza ebitundu 75%. Omusumba  Serverus Jjumba asinzidde wano naawa abavubuka n’abazadde amagezi bavve mukulindanga emirimu gya Office wabula bettanire nnyo amatendekero gebyemikono basobole okwetandikirawo emirimu. Omusumba ayongeddeko nti okufuna ettendekero nga lino mu Ssaza kikulu nnyo kuba , eggwanga lisaana okbaamu abantu nga basobola okwekolera ebintu byebeeyambisa mubulamu obwabulijjo, okusinga okubanga buli kamu basuubulwa busuulwa  ebweru , Omusigire w’omusumba Msgr Dr. Dominic Ssengooba , nga naye abaddewo, yebaziza nnyo omutandisi w’etendekero lino Francis Kamulegeya okukolaganira wamu ne Ssaza okutumbula ebyenjigiriza nasuubiza  nti baakukolaganira wamu naye . Francis Kamulegeya omutandisi w’etendekero lino agamba ekirowoozo kyokulitandika yakifuna mubiseera bya Covid 19 oluvanyuma lw’omugalo ogwakosa abantu, yakizuula nti abantu abaali bakola emirimu gyomumutwe bbo tebaakosebwa nnyo muggalo guno, baasigala bakola emirimu gyabwe, kale kwekutandika etendekero lino okubangula abavubuka bafune obukuggu okukola ebintu ebitali bimu basobole okukyusa obulamu bwabwe. Ono agamba olwobumanyirivu Eklezia Katolica bwerina mukuddukanya amasomero n’amatemndekero gaayo kyekimu kubyamuwaliriza okutta omukago naba Masaka Diocese. Ye Fr. James Ssendege omukwanaganya w’emirimu gyobutume mu Ssaza ly’e Masaka omu kubakulembeddemu okulaba nga batuuka kukkula lino ery’okutta omukago ayogedde kubukulu bw’emikago munkulakulana yebitongole abantu kyebasaanidde okwetanira. Mumbeera eno Fr. Micheal Kamulegeya atwala ebyenjigiriza mu Ssaza lye Masaka agambye etendekero lino kati lyegasse kwago gebalina era wakukola ekisobola nga kyetaagisa mwekiri. Steven Kakeeto akulira ebyenjigiriza mu kibuga Masaka agambyeabaana naddala abaliko obulemu babadde basanga okusoomozebwa okufuna masomero nga gano mwebasomera nayebaza omutandisi w’ettendekero lino okubalowoozako. REPORTED BY DDUNGU FRED Ends

Abasomesa bamasomo ga Arts mu Greater Masaka bekalakasiza

Olwaleero abasomesa ba masomo ga Arts abegatira mukibiina kyabwe ekya Uganda Professional Humanities Teachers Union mubendobendo lye masaka bakedde kwekalakaasa nga balaga obutali bumativu olw’omusaala gwebafuna gwebagamba nti gwamunyoto tegukyasobola kubayimirizaaawo. Bano okusooka baabadde bategese kubeera ku kisaawe kya Sports arena ekitovu mukibuga Masaka naye Poliisi enteekateeka negirinyamu eggere, kyoka tekilobedde bano kugenda mumaaso nenteekateeka yabwe  era bano bagikubye ekimooni nebekalakasiza mukisaawe kyomu Kasana Mu Nyendo. Bano bagamba nti kyekiseera gavumenti okuvaayo ejjewo enkola y’okusosola abaana n’ebyana bonna betaaga okubeezaawo obulamu. Amyuka ssentebe w’abasomesa ba Arts Mu greater Masaka Kafeero Yusufu agambye emitwalo 600,000 ne 800,000 ezibaweebwa tejibasobozesa kwebezaawo era bagala bongezebwe ensimbi nga wekyakolebwa kubasomesa ba Science. Mungeri yeemu Kafeero Yusufu agambye bakandaliziddwa ekimala era kati tebagenda kudamu kulinya mubibiina kusomesa bayizi nga ensonga zaabwe tezikoleddwako. Reported by Ddungu Fred

Arts Teachers Strike Enters Day Four amid Intimidation Reports

The strike by Arts teachers has entered its fourth day, with some of them reporting receiving threatening phone calls instructing them to abandon the industrial action or risk losing their jobs. The teachers, under their umbrella body — the Uganda Professional Humanities Teachers Union — began the strike last Friday to express dissatisfaction with their low salaries and demand the pay raise the government had earlier promised them. Robert Bwanika, the coordinator of the teachers union in the Greater Masaka region, stated that since the strike began, some teachers have been received intimidating calls, allegedly from security offices and district administrators, warning them to return to work or face dismissal. However, Bwanika emphasized that the union would not be deterred by those trying to undermine their cause. He urged the teachers to remain committed to their objectives. Bwanika said that before resorting to the strike, they had engaged various offices without success. He expressed surprise at the source of the threatening calls, saying some even originated from security offices and local government authorities. He insisted that their actions are within the law. Prior to the strike, the teachers had given the government a 90-day ultimatum to respond to their concerns. When that period elapsed without any action, they decided to lay down their tools and suspend teaching activities. Bwanika highlighted the financial struggles of Arts teachers, noting that diploma holders earn as little as UGX 600,000 while those with degrees earn around UGX 800,000 — an amount he described as inadequate given the high cost of living. He said many teachers can hardly sustain themselves or support their families. Kalungu East MP Francis Katabaazi Katongole also expressed support for the striking teachers, criticizing the government for what he called discriminatory salary enhancements. In the 2022/2023 financial year, the government increased salaries for science teachers — with degree holders now earning over UGX 3 million and diploma holders close to UGX 2 million. This, Katabaazi argued, has left Arts teachers feeling marginalized.

Are You Ready to Reach Our Listeners

Advertise With Us Today

Reach millions of clients in greater Masaka and the entire country

CENTENARY RADIO FM LIMITED is a catholic founded radio by Masaka Diocese and it broadcasts to the Diocesan community as its targeted market.

SITE LINKS

ABOUT US

Program Schedule

FOLLOW US

2025 Copyright © All rights reserved. Centenary 88.1 RADIO FM