OMUGAGGA ALEMESEZA ABATUUZE OKUFUNA AMAZZI

Abatuuze kubyaro ,3 okuli Kamazzi A Kamazzi B ne Malongo , ebisangibwa mu Town kanso ye Katovu mu District ye Lwengo balajanidde gavument ebayambe olwomuggaga gwebayita Musiitwa abanji gwebayita muzeei, abafuukidde ekyambikka nga abagobaganya , n’obutabakkirirza kusena mazzi ku luzzi olwekitundu , lwagamba nti luli mu kibanja kye era ono namakubo agazibye ekireseewo Embeera enzibu mu kitundu. Abatuze ngabakulembedwamu Ssentebe w’ekyaro Kamazzi A Narongo Mukinda Winifred, mulukiiko lwe kyaalo oluyitiddwa mobukubiririre bagamba nti omugagga Ono Musiitwa Isa yagula ettaka kukyaro Kamazzi A nga mwalimu oluzzi abatuze lwebakozesa wabula yagobamu abatuze obutaddamu kusena kuluzzi luno wamu nokuziba amakubbo agagenda kuluzzi luno ebyobyona bwebyatukawo ye n’abatuuze abalala kwekudukira mu office ya RDC we LWENGO okufuna obuyambi. Kyokka omugagga ayogerwako Musiitwa Isa agambibwa okuziba amakubo agagenda kuluzzi bino byona abyeganye nagamba nti mukibanja kye temuli luzzi wabula asabye abatuuze obutamwononela birime era asinzidde mulukiiko luno nasaba ,RDC ensonga ziino baziramuze nobwenkanya Wabula ye omumyuka w’omubaka wa president mu district ye Lwengo Lwatangabo Bonivencha bweyatuuse ku kifo kino, yagambye tewali muntu akirizibwa kugaana batuuze kukozesa luzzi kubanga ensonga ya mazzi gavument yajesigaliza era nalagira omugagga Musiitwa Isa aggule amakubo agatwala abantu kuluzzi era nalagira abatuuze okuddamu okulukozesa Namulema Mery Judi okuva mukitongole kyobutonde bwensi ku District ye Lwengo alabudde abantu okwewala okulima mulutobaazi nga tebafunye lukusa okuva mu gavument. Ends
Katikkiro Ku Butonde bw’ensi

Obwakabaka bwa Buganda butongozza ssabbiiti ya butondebwensi era enteekateeka etandikidde mu Ssaza Bulemeezi okuliraana olubiri lwa Kabaka olw’e Bamunaanika ng’eno wasimbiddwayo emiti ng’akabonero ak’okujjukiza abantu obukulu bw’okutaasa n’okukuuma obutondebwensi. Katikkiro Charles Peter Mayiga obubaka bwe ku nteekateeka eno abutisse Omumyuka we Owookubiri Owek. Robert Waggwa Nsibirwa nga mu bbwo, akubirizza Obuganda okwongera okufaayo ku nsonga y’obutonde bukwatibwe bulungi olwo Buganda ne Uganda byeyagaze Bannansi. “Ebintu nga; akaveera n’akacupa biremesa ebimera okukula era tusaanidde okukomya okubikozesa tutaase obutonde,” Katikkiro Mayiga. Owek. Mayiga akuutidde Abalyannaka okwongera okukuuma emiti egisimbiddwa gifuuke eky’okulabirako era entandikwa y’okukuuma obutondebwensi mu ssaza lya Beene lino. Wano era akubirizza abayizi okufaayo ennyo okutaasa obutendebwensi era bafuuke abasaale okukomya ebikolwa ebityoboola obutondebwensi. Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwansi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Owek. Mariam Mayanja Nkalubo asabye gavumenti eya wakati okusoosowaza obutondebwensi n’asaba ababaka ba palamenti ensonga eno eteekebwe ku mwanjo mw’ebyo ebiteseebwako mu lukiiko lw’Eggwanga olukulu. Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Bulemeezi Owek. Ronald Mulondo asabye Bannabulemeezi okutwala eky’okulabirako ku miti egisimbisiddwa ebeere entandikwa ebajjukiza okutaasa obutonde era asabye abakulembeze n’abebyokwerinda okuvaayo n’amateeka amakakkali gatangire era gakangavvule bonna abatyoboola obutonde. Ababaka ba palamenti ab’ekitundu kino nga bakulembeddwamu Hon. Robert Ssekitooleko bagamba nti nabo baakukola ekisoboka okulaba nga gavumenti bagissa ku kisenge okutaasa obutondebwensi. Omukolo guno gwetabiddwako abaami ba Kabaka; Omwami w’essaza Buluuli Owek. Ssonko Robert, Omumyuka Asooka owa Kangawo Mw. David Muzzanganda, ab’eggombolola, abatongole, ababaka ba Palamenti, Hon. Brendah Nabukenya, Hon. Hassan Kirumira n’abalala bangi.