
Obwakabaka bwa Buganda butongozza ssabbiiti ya butondebwensi era enteekateeka etandikidde mu Ssaza Bulemeezi okuliraana olubiri lwa Kabaka olw’e Bamunaanika ng’eno wasimbiddwayo emiti ng’akabonero ak’okujjukiza abantu obukulu bw’okutaasa n’okukuuma obutondebwensi.
Katikkiro Charles Peter Mayiga obubaka bwe ku nteekateeka eno abutisse Omumyuka we Owookubiri Owek. Robert Waggwa Nsibirwa nga mu bbwo, akubirizza Obuganda okwongera okufaayo ku nsonga y’obutonde bukwatibwe bulungi olwo Buganda ne Uganda byeyagaze Bannansi.
“Ebintu nga; akaveera n’akacupa biremesa ebimera okukula era tusaanidde okukomya okubikozesa tutaase obutonde,” Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga akuutidde Abalyannaka okwongera okukuuma emiti egisimbiddwa gifuuke eky’okulabirako era entandikwa y’okukuuma obutondebwensi mu ssaza lya Beene lino. Wano era akubirizza abayizi okufaayo ennyo okutaasa obutendebwensi era bafuuke abasaale okukomya ebikolwa ebityoboola obutondebwensi.

Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwansi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Owek. Mariam Mayanja Nkalubo asabye gavumenti eya wakati okusoosowaza obutondebwensi n’asaba ababaka ba palamenti ensonga eno eteekebwe ku mwanjo mw’ebyo ebiteseebwako mu lukiiko lw’Eggwanga olukulu.
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Bulemeezi Owek. Ronald Mulondo asabye Bannabulemeezi okutwala eky’okulabirako ku miti egisimbisiddwa ebeere entandikwa ebajjukiza okutaasa obutonde era asabye abakulembeze n’abebyokwerinda okuvaayo n’amateeka amakakkali gatangire era gakangavvule bonna abatyoboola obutonde.
Ababaka ba palamenti ab’ekitundu kino nga bakulembeddwamu Hon. Robert Ssekitooleko bagamba nti nabo baakukola ekisoboka okulaba nga gavumenti bagissa ku kisenge okutaasa obutondebwensi.
Omukolo guno gwetabiddwako abaami ba Kabaka; Omwami w’essaza Buluuli Owek. Ssonko Robert, Omumyuka Asooka owa Kangawo Mw. David Muzzanganda, ab’eggombolola, abatongole, ababaka ba Palamenti, Hon. Brendah Nabukenya, Hon. Hassan Kirumira n’abalala bangi.