Omusigire w’omusumba w’essaza ery’eklezia katolika ery’eMasaka Msgr Dr Dominic Ssengoba alabudde banansi abayitiriza okukyusakyusa enyimba z’eddini nekivirako obutajaayo bulungi makulu gaazo.

Okulabula kuno Vicar akukoledde Mulutiko e Kitovu mu Kibuga Masaka mukitambiro kya missa essaza lino bwelibadde likuza olunaku lwabazira mwebasimiidde abayiya benyimba zediini okubadde Rev. Fr. Dr. Joseph Namukanguula, Rev. Fr. Vincent Kateregga (Snr), Mr. Yiga Joseph, Mr. Ssemanda Lawrence nabalala.

Omukolo guno kubaddeko n’okutongoza ekitabo kyenyimba z’ediini ezayiyizibwa Fr Namukanguula era mukitongoza commissioner wa Paliment era omubaka wa Nyendo Mukungwe Owek Mathias Mpuuga Nsamba asabye abazadde okuddayo okulaba nga bagunjula omwana ajjudde era anasobola okukikirira eggwanga lye ate n’ediini ye nga abayiiya bano kyebali kati.
Omwami wakabaka amulamulirako essaza Buddu Pokiino Jude Muleke naye asinzidde wano nawanjagira banansi okwekenenya amaloboozi gebawuliriza.
Abasimiddwa okubadde, Fr Dr Joseph Namukanguula ne Yiga Joseph bebaziza zi Choir eziyimba enyimba zabwe era nebasaba abayimbi okugenda mu maaso nga bayimba enyimba ziino.
Reported by Kiyimba Joseph